Tosindira Munno Bizibu Nga Muli mu Kwepipina {Akaboozi Kekikuru}

MULIYO mutya batabani bange? Mwebale egibakooya nga mufuba okusanyusa bannammwe.
 
Ensonga gye njagala okwogerako leero by’ebimu ku bintu bye mukola nga mutuuse mu kisaawe e Namboole ne bimalamu bannammwe amaanyi.
 
Bannammwe babeera beesunga kubatakula obwedda awabasiiwa nga mmwe mutandika kubazza mu bizibu bye musanze mu lunaku n’ebyo ebibeeraliikiriza.
 
Leero ebiseera bino si by’ebyokuzza abaana ku masomero! Ne mulyoka mubasindira nga ssente za ffiizi bwe zikyabuze.
 
Abalala abalina abaana oba baganda bammwe abaatudde P7 ne mulyoka mutandika okusinda nga bwe mutamanyi oba ng’abaana banaafuna ebifo mu siniya mu masomero amalungi.
 
Abo abalina abaana abataayise bulungi, ne mudda ku bakyala bammwe okubavuma nga bwe baabazaalira ebyana ebisiru.
 
Bino byonna bimalako bannammwe obwagazi ne bwaba nga yakwesunze dda emisana, n’atoberera ne wansi nga bwe mumanyi, munnange obwagazi ne bumuggwaako.
 
N’olwekyo bwe muba nga mutandise bya laavu leka ate kubitabiikirizaamu ebyo ebinaamalawo obwagazi.
 
Tewali baagalana batalina bizibu naye ky’olina okumanya nti birina ekifo we byogererwako so si mu kitanda mwokka ng’abamu bwe balowooza.
 
Eyo mu kitanda ebeerayo maloboozi ga ssemusajja na Nabunnya. Mpozzi nga n’obutiiti bubakubira ensaasi.
 
Ggwe olina kukola gwa kusiiyiriza nga munno bw’akuwadde amasala olwo olyoke olabe nga Nabunnya we bwafukumuka entuuyo oba kale gayite amaziga. Ate nga eryo lye ssanyu lyo.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*