Ow´olubuto Oluto Wewale BIino

OMUKAZI bw’afuna olubuto ateekeddwa okwekwata mu ngeri ennungi okusobola okukuuma obulamu bwe n’obw’omwana ali mu lubuto.
Okunyumya akaboozi ly’erimu ku mateeka agatali mawandiike agafuga abafumbo. Mu kwesanyusa kuno, abaagalana abamu Katonda abaweerayo ebirabo by’abaana kyokka oluusi ne bitatuukirira olw’obutamanya bw’abakulu bombi.
 
Okunyumya akaboozi ak´omujjirano ng’omukyala ali lubuto oluto kya bulabe kuba lusobola okuvaamu Ezimu ku nsonga ezivaako obulwa buno mulimu obusagwa obuva mu nkwaso z’omusajja . Buno bwe butuuka ku nnabaana asobola okwetugga . Obusagwa buno obuyitibwa “Prostaglandins” bwe butugga nnabaana n´anyigiriza omwana abeeramu n’avaamu. Bawa abazadde amagezi nti mu myezi esatu egisooka, omwana atonda abeera tannatereera mu lubuto n’olwekyo obwegendereza bwetaagisa nnyo.Obungi bw’enkwaso omuva obutwa obutugga nnabaana buva ku mirundi omukazi gye yeegatta. Kiba kirungi akaboozi mukanyumye waakiri omulundi gumu mu wiiki oba mu wiiki bbiri.
 
Mu bizibu ebirala ebisobola okuggyamu embuto abafumbo bye balina okwetegereza babyewale mulimu;
 
Sitayiro: Mwewale sitayiro ya kabuzi ne minsonale kubanga omusekuzo gugenda wala ekiyinza okukosa omwana.
 
Amaanyi agakozesebwa nga mwegatta nago gateekwa okubeera amatono. Omusajja bw’ayitiriza okukozesa amaanyi munne akoowa nnyo ekikosa obulamu bwe n’omwana.
 
Emirimu: Omukyala ateekwa okwerowoozaako ennyo aleme kukoowa nnyo mu mirimu gy’akola kubanga omubiri bwe gukoowa n’omwana mu lubuto kimukosa. 

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*