Otengula Otya Obasajja

Abakazi beesanga mu mbeera y’okwegomba abasajja wabula ne babulwa we batandikira. Ekivaamu kwe kusubwa omukwano oluusi ogwandibadde omunyuvu.

Omukyala ali mu mbeera eno waliwo engeri gy’oyinza okulagamu omusajja gwe weegwanyiza nti omwagala, wabula ate nga teweeweebudde.

Teweefuula ky’otoli: Kirungi omulage ky’oyagala ne ky’otoyagala kubanga bw’oneefuula ky’otoli mu bbanga ttono ajja kuzuula ekituufu n’ekinaavaamu kukukyawa.

Teweekomomma. Abakyala abamu bwe batuuka ku nsonga z’omukwano tebekkiririzaamu, oluusi ekibasubya abasajja abandibaagadde. Omukwano tegutegeeza kubeera mulungi kyokka wabula n’okwekkiririzaamu kikulu.

Omusajja bw’amanya nti wekkiririzaamu alina engeri gy’akulabamu n’akwagala. Ensonyi nazo olina okuzeggyamu. Kulembeza ebyo ebikuggyayo. Okugeza bw’oba olina olususu olulungi, tolowooza ku magulu amatono g’olina. Lowooza ku kirungi, kijja kukuyamba okwekkiririzaamu.

Bw’oba oli muntu wa bigambo ebisesa, tobirekaayo, naddala bwe mubaako we muli. Abasajja baagala nnyo omuntu anaabasanyusa kubanga tamubbowa.

Weewale okuyita w’olina okukoma. Emirundi egimu bw’oyagala omuntu oyinza okwekanga nga buli ky’okola ng’oli naye
kisukka bulijjo bwe kiba. Okugeza oyinza okwesanga ng’oyogerera waggulu, oba osekera waggulu. Kino kiyinza obutamusanyusa.

Ekirala weewale okwogera buli ekikujjira mu mutwe. Kino oluusi kijja singa obeera otidde.

Fuba okulaba nga teweeraliikirira, kuba tobeera ku kibonerezo. Fuba buli kiseera okulabika ng’osikiriza. Kino kijja kukuyamba obuteerowoozaako ng’atasaanidde. Bw’oba oli muntu wa kwekolako, fuba okulaba nga buli kiseera ddikini anoze bulungi.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*