Omukazi bw’atasanyusibwa mu kisenge emirimu gizing’ama

ABAAGALANA bangi ennaku zino bafuna baana bannaabwe nga balowooza nti banaafuna essanyu naye ekiseera kituuka buli muntu n’atandika ekwejjusa n’okwevuma munne.
Waliwo abatuuka okunoba oba okutandika obwenzi naye ng’ekizibu kiva ku bbo nga buli omu tatuukirizza byetaago bya munne mu kisenge.

A Abakazi abatuuka ku ntikko kuba oli bw’aba tayagala kunyiiza munne bw’amuwulira ng’alaya enduulu z’akamalirizo nga naye yeefuula atuuse ku ntikko okuzzaamu munne amaanyi, nay nga tanyumiddwaamu n’akatono.
Abasajja abamu banywa ebiragalagala nga baagala okumazisa bannaabwe, kyokka okukkakkana nga babalumizza.
Ekyagaza omubi omulungi takimanya. 
Omusajja asobola okwagala omukazi gw’otomuwa naawe ne weebuuza ekyamumwagaza naye ng’ensonga eva mu kisenge.
Kasita omuntu olya emmere awantu n’emuwoomera ne bw’eba wala era oginoonyaayo olw’obuwomi obuba bugirimu era n’ekiseera kisobola okutuuka ng’oli ne munno ate n’olowooza omulala, okukkakkana ng’omukwano gusaabulukuse.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*