Omukazi Apeeka Omusajj Akaboozi Atamma

BULI kintu bwe kiyitirira kitama. N´omukazi apeeka omusajja omukwano n´atamuweeza atama.
 
Ab´engeri eno buli kiro ayagala banyumye akaboozi ne bw´oba oli mu mbeera etya.
 
Ekika ky´abakazi ab´engeri eno, omusajja ne bw´amusiiyiika atya omusekuzo tagukkuta. Waliwo abakazi abali bwe bati nga kya butonde.
 
Bano ndowooza b´oyinza okuyita ab´akasagazi.
 
Wabula abakugu mu mukwano bazudde ekika ekirala. Kino ky´ekyabakazi abali wakati w´emyaka 35 ne 45. Mu butonde bw´omukazi, emyaka gino w´asinga okubeerera n´obwagazi nga buli kiseera ayagala okwegatta.
 
Kati nnakyala n´alyoka akuluusanya omusajja buli kiro n´amakulu agali mu kunyumya akaboozi ne gabula.
 
Gye biggweera, ng´omusajja amwetamiddwa era ng´atandise n´okumweraliikirira nga buli lw´aba adda eka, omutima gumutundugga.
 
Ekiva mw´ekyo ng´amaanyi aganyumya akaboozi gamubula. Bw´aba asobodde okuwanga, amala eddakiika bbiri ng´amalamu akagoba.
 
Ate omukyala abeera amutakuddeko butakuzi, olwo nno n´abanga asudde ejjinja mu njuki. Kubanga aleka ataanudde obwagazi bwonna, ate n´atabufunira ddagala.
 
Ky´ova olaba ng´ensangi zino abakazi bangi bakwatiddwa mu bwenzi bali mu myaka ejo jenjogeddeko waggulu. Ate buli gwe bakwatako engalo awoza, “baze tamalaako”.
 
Naye nno musaanye mukimanye nti akaboozi muzannyo era gunyuma nnyo nga mugwetegekedde bulungi.
 
Kale abakazi mufuge obwagazi mumale akadde nga temukanyumizza, mwembi mujja kunyumirwa era tewali ajja kusigala ng´awankawanka.
 
Omusajja alina omukazi ali mu myaka egyo, funa engeri gy´omukwatamu.
 
Ate waliwo abakazi abalowooza nti ekimala omusajja obwenzi kumuwa buli lunaku. Abalala balowooza nti omusajja bw´otamuwa buli lunaku akukyawa. Akaboozi muleke kukafuula nga mmere nti oteekwa okulya buli lunaku.
 
Ate ekyewuunyisa, abasajja abasinga ku myaka egyo eby´akaboozi biba bitandise okubatama.
 
Tebibatama lwa maanyi matono wabula olw´ebizibu ebiba bibatunuulidde.
 
Ekisooka omukazi abeera aludde naye nga takyamulinamu maddu.
 
Eky´okubiri abaana baba batandise okusoma n´obuvunaanyizibwa obulala ng´omusajja bw´atetenkanyiza amaka ge. Kati ggwe bw´omuleetako akasigiri aka buli lunaku, okukkakkana ng´amaanyi gamubulidde ddala.
 
So nga bwe muba mwekutteko nga mwembi muli mu muudu, ondabira akazannyo bwe kanyuma ne mwewala obwenzi mu maka.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*