Omanya otya nga munno amaze?

Ndudde nga mbannyonyola ku kumalamu akagoba mu bakyala.
Wabula abasajja bangi bampandikidde nga baagala okutegeera engeri gye bamanyaamu nti bannaabwe batuuse ku ntikko y´omukwano. Ekituufu kiri nti kumpi buli mukyala yali alimbyeko nti atuuse ku ntikko naye nga ddala tamaze. Kino kitegeeza nti abakyala bangi abalimba nti bamaze naye nga tebamaze.
Abakyala bangi bagamba nti tebamala era bakalu mu mbugo. Bw´obeera omukalu tosobola kumala. Abakyala balimba abasajja nti bamaze olwokuba n´abasajja bangi tebamanyi omukazi amaze bw´abeera.
Ekirala, abasajja abasinga tebamanyi mibiri gya bakyala baabwe era n´empuliziganya y´emibiri gyabwe teriiwo.Olw´okuba abasajja tebafaayo, abakyala bakozesa akakisa kano okubalimba nti bamaze basobole okubejjako naddala abafumbo.
 
Lwaki abakazi balimba abasajja nti bamaze?
Ekibakozesa kino kwe kutaasa obufumbo n´omukwano gwabwe. Abakyala balina endowooza nti ssinga tebamala, kitegeeza nti ssi bakyala balungi era tebasaana kubeera mu bufumbo. Abalala balowooza nti ssinga tebalimba nti bamaze, abasajja bayinza okubakyawa.
Ekirala baagala okulaga abasajja nti basanyuse. Kizibu omukazi okwatulira omusajja nti simaze. Kino batya okukikola kuba bamanyi nti buvunaanyizibwa bwabwe okusanyusa omusajja.
 
Olwo omanya otya nti omukyala amaze?
Omukyala yenna okumala alina okufuna obwagazi. Okufuna obwagazi kitegeeza nti alina okuleeta amazzi.
Kyokka ekirala, abaami bangi kye batamanyi nti omukyala bw´afuna obwagazi, ebitundu by´ekyama biyitamu omusaayi ne bikaluba mpozzi nga bwe wandirabye omusajja bw´ayima.
 
Okumala kubeera kutya?
Mu kumala, omusaayi gweyongera mu binywa ebyotooloola obukyala ssaako n´abalongo bennyini. Olwo ebitundu bino byeyongera okugejja oba okuzimba. Omukyala akyusa engeri gy´assaamu ng´assiza kumukumu ssaako n´okufukumuka akatuuyo. Ebisenge by´obukyala bibuguma ne bigaziwa nga bwe bifunda. Olwo n´amazzi geeyongera mu bukyala era agamu ne gatandika n´okufuluma. Omubiri gw´omukyala guyinza okukankana(nga vibrator ya Nokia) naddala ebitundu ebiriraanye ebisambi. Naye jjukira nti buli mukyala anaamala alina kusooka kufuna bwagazi. Kino kitegeeza nti omukyala afunye obwagazi asobolera ddala bulungi okumalamu akagoba.
 
Engeri endala gy osobola okumanyaamu nti omukyala amaze ya kumukwata ku balongo nga mwakamaliriza emikolo.
Bw´aba amaze bulungi, tasobola kukukkiriza kubakwatako kuba abalongo bano baba balimu ennyonyoogeze nnyingi nnyo mu kiseera ekyo. (Obuzibu obulimu nti olwokuba mmaze okukiwandiikako, abakyala bangi bagenda kubuzaabuza bagaane babbaabwe okubakwatako mu kiseera ekyo yadde nga babadde tebamaze).
Newankubadde abakyala bangi bamanyisa abaami baabwe nti bamaze mu kukola amaloboozi ag´enjawulo, amaloboozi omukyala g´afulumya ng´amaze ga njawulo nnyo kuba gajja naye tategedde n´olwekyo osobola okugaawulamu.
Amatuufu omukyala ebigambo aba tabirinaako buyinza era amala googera.
 
Ekirala, omukyala bw´amala afuuka wa njawulo nnyo. Afuna essanyu naye ly´atamanyi gye livudde, buli ky´akola kimwanguyira sso n´omubiri gukkakkana.
Doozi y´okumala emu eyamba omukyala okwewala endwadde era abakyala abatuuka ku ntikko y´omukwano babeera basanyufu.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*