Oluusi abeera Akukiina

MUSULA mutya batabani bange? Mwebale kuyimirizaawo amaka gammwe n’okulaga bannammwe omukwano.
 
Leero njagala kubalabula ku bannammwe abo ababasuuta naddala nga muli eyo mu byammwe.
 
Mulina okukimanya nti oluusi bannammwe abo balina ebigambo bye boogera nga kye banoonya kwe kubazzaamu amaanyi, naye nga mu butuufu babeera babakiina.
 
Kino kitegeeza nti naawe oteekwa okubeera nga weemanyi olwo munno bw’abaako ne bw’akuwaanamu omanye nti ddala kituufu, oba nti akusiba kiwaani.
Okugeza oluusi bamanyi okubawana nga bwe mwakula ne muwola. Tebakoma awo, bamanyi n’okubagamba nga bwe mubatta, sso nga mu butuufu abeera talina ky’awulira n’akatono.
 
Oluusi akutandikako nga wakeeyambula n’alyoka akutenda nga bwe wabala era ne yeekoza nga bw’atajja kukusobola , sso nga byonna bya kukubuzaabuza.
 
Olwo ggwe musajja wattu n’osika ebitogi ng’olowooza oli wa maanyi naye nga mpewo njereere, era akukongooza bigere.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*