Obukyala Bwetaaga kulabirira nga Mwana

ABAKAZI bangi bafaayo nnyo ku ndabika yaabwe ey’okungulu kyokka ne beerabira okulabirira ekyo ekibafuula abakyala. Buli mukazi asaanye amanye nti Emana ky’ekimu ku bitundu ebisinga obukulu ku mubiri gwe era kyangu omusajja okukwagala oba okukukyawa ng’asinziira ku nkula n’endabirira y’embugo zo. N’olwekyo buvunaanyizibwa bwo omukazi okumanya bino ku bukyala bwo.

Enkula n’enfaana yaabwo. Osobola okuteeka endabirwamu wansi n’ositama ne weetunula mu mbugo kikuyambe okumanya bwe wakula munda. Bwe muba mu mukwano, munno buli ky’abeera awaana ku nkula ya nnabunnya wo obeere ng’okimanyi. Ne bw’aba akukiina okimanye. Bw’oba omanyi bwe wakula, osobola naawe okumulagirira ekitundu ky’aba akwatako.

Empale z’oyambala. Obukyala tebukolaganira ddala na mpale zitali za ppamba. Empale y’akatimba nayo ebeera nnungi nnyo ku bukyala kuba we buyisiza ku mpewo ne butatuuyana na kuwunya kisu. Naye toziyitiriza ziyinza okubunnyogoza.

Empale ey’akaguwa akasalamu obusazi mu kabina ne mu bukyala (g-string) nayo teyandibadde nnungi kwambala buli lunaku. Akaguwa ako we kayita kakulukuunyaawo ne kakendeeza ennyonyogeze ezirina okubeerawo.

Empale ennyimpi si nnungi kwambalira mu ngoye wadde abakazi bazaagala nnyo.Zireeta ebbugumu lingi mu bukyala ne butuuyana ne buvaamu olusu.Kirungi n’oyambaliramu ppeti ate nga ya ppamba mu kifo ky’ekiwale ekyo.

Okubuyonja. Nga bw’olongoosa ekyenyi n’obukyala bw’olina okubulabirira. Bwe buba busakaatidde bumwe kuba singa tokikola bw’otuuyana n’obwoya obwo butuuyana ne buleeta ekivundu. Ekiva mu kino kwe kugubya empale. Omusajja tayagala kutunula ku mpale ya mukazi egubye. Kimumalamu amaanyi aganyumya akaboozi.

Okunaaba. Mu butonde, obukyala bweyoza bwokka. Bw’oba tolina bulwadde bwa kikaba, buvaamu amazzi meeru. Tobunaabisa ssabbuuni yenna okusobola okubutukuza. Ssabuuni alimu ebirungo ebyonoona akabubi akaweweera mu bukyala bwo ate omu bamussaamu ebirungo ebikaza. Singa omunaabisa oyinza okukala mu mbugo n’akuleeguula ne lasitiika. Tobusokooza lugalo nga obunaaza kubanga olugalo luyina okyuza akabubi nofuna amabwa. Obukazi obw katonda yabutonda nga bulina amazzi gabwo amayonjo agabunaaza nolwekyo bwoba onaaba tosanye kwesokoola kubanga eyo munda watukuvu nnyo.

1 Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*