OBUKODYO BW’ABAKAZI ABAKUUZI

OKUKUULA ebinnyo kye ki? Buli muntu akitaputa bubwe naye nga mu ngeri esinga okuba enyangu kitegeeza okuggya ekintu ku munno mu ngeri ey’olukujjukujju oba okubuzaabuza.
 
Abakazi abaludde mu kisaawe ky’okukuula bakitaddemu obukodyo . Bangi tebakyakuula ssente zokka, wabula bakuula okuva ku bijanjaalo ebibissi oba kawo okutuuka ku bizimbe.
 
Ye abakazi obategeera otya? Nga yagambye okukuula omusajja ekintu ne bwe baba bamutenda okuba mukonoggaamu akimujamu.
 
Okukuula ennaku zino kulimu emitendera okusinzira ku kika ky’omukazi. Okugeza abaana b’amassomero bakuula chipusi n’enkoko,  ‘Air Time’ n’ Obusimu obw’omungalo. Abawala abamu bagala nnyo okuvuganya n’okulaga nti bamaanyi nga bakozesa ssente n’ebyokulya eby’ebbeyi.
 
Omusajja ow’ekika kino bw’amusaba okumugulira eby’okulya tamutwala mu maduuka aga bulijjo , amutwala mu maduuka gaggadde nga ;Shoprite, Garden City , Game oba Uchumi.
 
Bwatuuka eyo n’akyekola n’attika akaggali ne kajjula. omusajjabw’aba ow’ensawo entono abula kuyita mmanju adduke.
 
Bano era buli kiseera essimu ezaabwe babeera bazibbye ate tekubeera bw’abeera nayo tebeerako ‘Air Time. Ate ekikusesa bwe bamubateerako tebakuba ssimu wabula oluberera babiipinga
 
Waliwo abakazi bwe bamutwala okunywamu mu bbaala buli mutembeeyi amusala mu maaso amuyita. Ab’engeri eno batera kubeera bannakyeyombekedde abeepangisizza kuba abeera amanyi nti awaka tewali abigula.
 
Kale bw’afuna omukisa n’akwatta ku musajja agukozesa. Atunda kawo bw’atuuka n’amuyita, ow’obutunda n’emicungwa amuyita, ow’engatto oba owa sikaati za jiini naye n’amuyita.
 
Takoma awo bwe biba bya kulya bw’aba yalidde dda enkoko, bw’alaba ow’enseenene nga yeeyogeza nga bw’aludde okuziryako . Bwatuuka ku mwenge tanywa ‘Bell’ ow’essente entono bulijjo gwaanywa wabula asaba ggwa bbeeyi nga Amarula oba Red Bull.
 
Kyokka waliwo bakazi abakuulira mu jjiya. Bano babeera ne ssente oba beefuula abazirina nga boogerera mu bintu binene. Bano be basaba abasajja emmotoka, ennyumba ne poloti.
 
Ayinza okugamba omusajja nti ekimubuzizza anoonya ssente kusasula musolo ggwa mmotoka ye eyatuuse era ng’abuzaako ntono obukadde bubiri bwokka.
 
Abalala asaba luutu ya musenyu ya loole ‘magulu kkumi’. Ab’engeri eno bw’asaba omusajja alaga nti bw’oba ompa mpa bw’oba tompadde nja kusobola okubyekolerako ekireetera omusajja okuswala mu mutima ne yeesumulula.
Abakazi abafumbo bo bakuula ssente ze bateeka ku akawunta zaabwe. Tebeeteekera kutwala bintu bye banaababuuza.
 
Bano era tebagenda mu loogi za layisi gye banaabakwatira. Ate balwaza nnyo bamaama baabwe era beefula nti balina baganda baabwe be baweerera naddala mu yunivaasite. Olwo omusajja alina omutima omusaasizi era anoonya okubeerako kye yeekolera n’asumulula ssente.
 
N’olwekyo ggwe omusajja akwana omuwala oba omukazi agwa mu kiti ki?

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*