Laba Amaanyi gokozesa ng´onyumya akaboozi

 AKABOOZI okanyumya buli ddi?

Buli ssaawa, lunaku, wiiki, mwezi oba wakafuula mmere nti lw’otakanyumizza otulo tukubula? Bannassaayansi babaliridde amaanyi omuntu g’akozesa okuva lw’afuna ekirowoozo ky’okunyumya akaboozi okutuusa lw’atuuka ku ntikko. 
 
Amaanyi gano omubiri gwe gakozesa okukola omulimu gwonna gayitibwa ‘Calories’ (soma kaloriizi). Era ge bakozesezza okupima amaanyi omuntu g’akozesa ng’anyumya akaboozi. 
 
Omukazi okuggyamu engoye; 
Bw’aba yeeyagalidde akozesa kaloliizi 16. 
Ng’okamuggyemu ku mpaka akozesa 187. 
 
Okweyambula akaleega; 
Bw’akozesa emikono gyombi gyetaagisa kaloliizi 8 ate omukono ogumu ziba 12 ate bw’okamuggyamu n’amannyo ziba 85. 
 
Okwambala kondomu; 
Bw’oba okubye saluti 6 
Nga tokubye saluti 315 
 
Okwenoonya; 
Okuzuula abalongo 8. 
Okuzuula emmanduso y’obwagazi 92. 
 
Ebika bya sitayiro z’okozesa; 
Zino ze mukozesa buli omu: Mukazi wansi mwami waggulu 12, musajja wansi mukazi waggulu 78. 
Nga muyimiridde 112. 
Nga muyising’anyizza amagulu nga mutudde 216. 
Kabuzi 326, ate ak’omu mbiriizi 912. 
 
Okutuuka ku ntikko; 
Okwamazima 112 
Okw’ekicupuli 315 
 
Okuwummulamu nga mumaze luutu emu; 
Okuwummula nga mugwang’anye mu kifuba 18, bw’ositukirawo nga mwakatuuka ku ntikko 36. 
Okunnyonnyola munno lwaki omaze nga ye tannamala 816 
 
Okuddamu okuyunga okusinziira ku myaka. 
Wakati w’emyaka 20- 29 ziba 36 
30-39; 80, 
 
Emyaka 40-49; 124 
Emyaka 50-59; 972 
Emyaka 60-69; 2916 
Emyaka 70- n’okweyongerayo tezinnamanyibwa naye ono bwe yeepampalika okuddamu yandiyitirayo. 
 
Okwambala engoye; 
Okwambala okw’emirembe, 32 
Nga mupapirira 98. 
Nga babakutte, 3521.
 
Ky’ova olaba ng’omuntu entegetege zimufamba n’agayimirira ne gabula nga kalori ziweddemu

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*