Ensonga Eziremesa Abakazi Okusindika Omwana Mu Leeba

ABAKAZI okulongoosebwa nga bazaala, edda nga kyeraliikiriza naye kati bangi be basalawo balongoosebwe.
 
Okunoonyereza okuliwo kulaga nti, abawala atandika okuzaala ennaku zino tebakyayagala kusindika baana basinga kwagala.
 
Omusawo omukugu mu mbeera z’abakazi agamba nti, kituufu abakazi abamu bwe batuuka mu ddwaaliro baba baagala babalongoose nga batya obulumi naye nga waliwo ensonga endala eziteewalika ezireetera omukazi okulongoosebwa era ze zino:
 
Amagumba amatono: Waliwo abakyala abalina amagumba amatano ate nga mampi nga tegasobola kuwanirira na kusindika mwana. Kino kiri mu bakyala abampi.
 
Abasawo obumpi buno babupimira ku bunene bw’ekigere ne bamanya oba omukazi taasobole kusindika mwana aba asobola.
 
Omwana okulegama mu magumba: Mu mbeera eno omwana akula adda mu magumba.
 
Okuzaala kugenda okutuuka nga takyasobola kuyita mu magumba ago okuggyako okulongoosa nnyina omwana ne bamuggyamu. Obukazi obufunda: Mulimu abakyala abalina obukazi nga bufunda. Bano obukazi bwabwe buba tebusobola kunaanuuka bulungi omwana n’ayitawo.
 
Obulwadde: Singa omukazi agenda okuzaala abeera n’obulwadde obw’entunnunsi oba omutima, kiyinza okumubeerera ekizibu okusindika omwana.
 
Omubiri gubeera munafu nga tegusobola kufuna maanyi geetaagisa kusindika mwana abasawo ne basalawo okumulongoosa.
 
Omwana okwekyuusa: Omwana alina kusoosa mutwe olwo ebitundu ebirala ne bigoberera.
 
Kyokka waliwo abasoosa amagulu oba emikono. Ono tewaba kirala kikolebwa okuggyako okumulongoosa.
 
Emyaka: Abawala okuva ku myaka 12 -17 amagumba gaabwe gaba mato nga tegasobola kusindika mwana. Mu ngeri y’emu n’abakazi okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, amagumba gaba gakaddiye nga tegasobola kusindika mwana.
 
Abakyala abasinga abafuna embuto nga bakuliridde mu myaka balongoosebwa bulongoosebwa omwana n’afuluma.
 
Enkula y’omwana: Waliwo abaana ababeera ababiri oba abasatu nga maama waabwe mufunda oba omubiri gwe munafu okusindika abaana bano bonna.
 
Abasawo kye bakola kuba kulongoosa maama waabwe. Ekirala omwana ayinza okuba omu naye nga munene ekisusse n’agaana okuyitawo.
 
Olubuto okukulira mu nseke: Mu mbeera ng’omwana yakulira mu nseke, maama we aba alina okulongoosebwa omwana basobole okumuggyayo. Omusawo atangaaza nti omukyala yenna atagwa mu biti ebyo waggulu yandibadde asindika omwana bulungi.
 
Eky’okutya obukazi okuleeguulukuka kikyamu kubanga kino kya butonde buddawo ng’omaze okuzaala. 

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*