Ensonga ezijunguludde laavu y’abafumbo abakola

ENNAKU zino abafumbo bangi ekigambo kwegatta tekikyaliwo. Singa obuuza ku bafumbo bangi bakugamba nti basobola n’okumala omwezi mulamba nga teri kwegatta! Ate ekyewuunyisa nga n’ennyonta teriiwo oba obwagazi.
Embeera eno yeeyongedde ate n’abagiryamu ssente bangi ddala. Abasajja abamu balowooza nti tebalina maanyi oba balina matono, olwo ne bagenda ku basawo abasinga nga bafere ne babalyako ssente zaabwe.
Era n’abakyala bakugamba nti obwagazi tebabulina era bangi baafuuka bannabukalu, okwegatta kuba kwa nduulu, olwo ne banoonya abasawo nga basuubira nti osanga banaabayamba okukyusa ku mbeera eno.
Ensonga ezireese embeera eno mulimu zino wammanga;
1 Abantu bangi bayingira obufumbo nga teguli ku musingi mulungi, tewali mukwano wabula nga yayagala ssente.
Omuntu gw’oyita mukyala oba omwami wo nga tomumanyi, weebuuze onoofuna otya obwagazi nga mwegasse? Wamulonda bulonzi ng’empisa tozimanyi ate nga naye mu butuufu takumanyi.
2 Ennaku zino kumpi buli muntu omukulu alina ebizibu ate nga binene. Tutambulira mu looni, mu bulwadde, mu bukyayi era ne mu kutya. Mu mbeera eno, omubiri tegusobola kufuna bwagazi era okwegatta kukendeera. Kimanye nti obwongo kitundu kikulu nnyo mu kwegatta. Nga tebuteredde tosobola kufuna bwagazi anti obeera mu kulowooza.
3 Ennaku zino abakyala bakola nnyo ate n’abasajja abakola nabo bwe batyo. Olwo mwembi ne mukomawo nga mukooye. Olwo ani ayamba munne okukkakkana?
Edda ng’abakyala tebakola baafubanga nnyo okulaba ng’omwami bw’akomawo adda mu nteeko ne bamuggyako obukoowu bwonna. Jjukira nti mu bukoowu obungi tosoboola kufuna bwagazi.
4 Newankubadde tukola nnyo tugaanye okwewa obudde ng’abafumbo okulaba nga tufuna akaseera ak’omukwano. Wano Abazungu we batusingira kubanga bagera akaseera ne bagenda okuwummulako mu ‘holiday’ oba ‘vacation’.
Ffe ne bw’oba ku liivu, ate weesanga oli mu nnimiro oba kukola ku bintu ebirala by’osobola okuggyamu ssnete. Mu mbeera eno, omukwano gugenda guggwaawo tutandika okumanyirira embeera eyo ne tulemeerayo.
5 Abasajja kati batya nnyo bakyala. Abakyala b’ennaku zino bamanyi omukwano kyeki, era essanyu omuntu alifuna atya mu kwegatta. Kati okumala geegatta na mukyala ng’obwongo tebuli wamu nga nawe toteredde aleseeyo asinga. Mu mbeera eno, abasajja bangi eby’okwegatta babivaako nga beetegekera lwe balibeeramu n’amanyi agawera, sso nga kino kikyamu kireka bannaabwe nga balakasidde.
6 Ekirala amaka mangi kati galimu ebizubu. Naye ebyembi tewali bantu beesigwa abasobola okuyamba abalina ebizibu mu maka. Abasinga bafere kuba baba banoonya ssente.
Mu mbeera eno amaka gatambulira awo naye nga gafa mpola mpola. Munno yayenda oba yazaala omwana ebweru naye olina ekisungu kyo ate naye talina bw’akutandika. Ekivaamu ng’okwegatta kufa ne mugendera awo.
7 Ekisembayo obuvunaanyizibwa mu maka abakyala bakututte nnyo ate n’abasajja ne bakkiriza. Omukyala okusinga omusajja ssente tekitegeeza nti tosigala ng’oli musajja mu maka.
Omusajja oteekeddwa okusigala ng’oli wamugaso mu maka era n’eri mukazi wo. Sigaanyi alina ssente naye omuyamba ki? Oba oli mu kunywa mwenge nga bw’anoonya ssente ezirabirira awaka? Olwo anaafuna atya obwagazi okwegatta n’omuntu atalina buvunaanyizibwa?
Baana bange abasajja mweddeko. Ate n’abakyala ennaku zino okubeera omukyala tekitegeeza kutuula butuuzi. Ogwo omulemebe tegukyaliwo.
Olina okulaga obukyala mu maka oba obuvunaanyizibwa ng’omukyala. Kino bw’otokikola obufumbo bujja kuzing’ama.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*