Emizizo Gy’ekitanda

Omuwala bwe yazzanga omukono emabega nga tatuula ku kitanda kya bazadde be.

Engoye z’omunda zakuumibwanga mu kitanda nga zaanikibwa ku kitanda kuba tezaalabwangako muntu mulala.

Ekitanda kye kimala ekizadde,okukuuma omwana n’atafuna buzibu.

Ekitanda era kye kimala emikolo gy’abaana nga bagenda okufumbirwa.
Omwana omuwala okwoza engoye z’oku buliri bwa bazadde be kizira.

Omwana omulenzi takkirizibwa kwebaka ku kitanda kya kitaawe wadde mu kisenge.

Omukazi teyalekanga kitanda nga si kitereeze era ng’ekintu ekisooka oku¬kolebwa kwe kwala obuliri .

Ekitanda kyabanga n’ennyambala yaakyo ng’omukyala okulinnya obuliri alina okwambala mu ngeri esikiriza bba.

Omusajja okwebasa omukazi omulala mu kitanda ky’obufumbo naddala nga mukyala we ali lubuto oba ng’ama
ze okuzaala kyabanga kya kivve.

Omwana azaaliddwa nga tasuzibwa mu makkati ga kitanda nga bamufunira obuliri bwe ebbali w’ekitanda ky’abakulu.

Ssemaka bweyafanga ng’ekitanda bakivuunika nga kivuunulwa bamaze kwabya lumbe.

Omusajja bwe yabeera ng’aliko ew’omukyala omulala gy’ayitidde nga tatuula ku kitanda nga tanaabye okweggyako ebisiraani by’aba azze nabyo ebiyinza okuleetawo obutabanguko mu maka.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*