Embolo Entayiirire yeli Ku Mulembe

BWOBA obadde okyatya okutayirirwa kino kye kiseera okutya okusibe ku mpagi. Genda mu ddwaaliro abakugu bakuggyeko ekiriba ekyo kubanga bakizudde nti, kiyinza okuvaako endwadde z’ekikaba ne siriimu.

Abakugu bagamba nti omusajja omutayirire si kyangu kukwatibwa ndwadde za kikaba nga bwe kiri kw’oyo atali mutayirire. Bagamba nti omusajja atali mutayirire ayanguyirwa okukwatibwa endwadde z’ekikaba kubanga ekikuta ekibikka ku mutwe gw’obusajja kitereka obucaafu bungi omuyinza n’okuyiza obuwuka obulwaza endwadde z’ekikaba singa abeera yeegasse n’omuntu azirina.

Ekirala ekikutta kino ekibisse omutwe gw’obusajja bwe kisalibwako, omutwe guggwaako ennyonyoogeze kubanga buli kiseera gubeera gwekuuta ku kawale k’omunda. Kino kitegeeza nti omusajja omutayirire ne bw’aba yeegasse n’omuntu alina obulwadde kibeera kizibu omutwe okunuubuka.

Omusajja atali mukomole ayanguyirwa okukwatibwa obulwadde kubanga mu kikuta musobola okwekwekamu obuwuka obukwasisa endwadde z’ekikaba.

Ekirala ekikuta kino bwe kiba kiggyibbwa ku mutwe gw’obusajja kyanguyiza omusajja okunaba obulungi n’atukula.

Ng’oggyeeko okuwonya okukwatibwa endwadde z’ekikaba, omusajja omutayirire kizibu okulemwa okutambuza emirimu gy’omu kitanda. Engeri ekikuta gye kiba kisaliddwa ku mutwe gw’obusajja alwawo okufuna obwagazi wabula ate bw’akoleera kizibu okuzikira nga bwe kibeera ku basajja abamu abatali batayirire.

Ekirala enkovu oba akakukufa akasigalawo oluvannyuma lw’okumutayirira kalina engeri gye katakulamu omukazi nga beegatta n’anyumirwa ekigenda mu maaso.

Engeri omutwe gw’obusajja gye gutabeerako kikuta kibikkako, alwawo okumalamu akagoba, ekiwa omukazi ebbeetu okuwoomerwa n’akuba n’ebibejjagalo!

1 Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*