Embeera Etta Obufumbo Mukisenge

Wewale bino wamanga tebyeetagisa nga mwezina:

1. Obusuungu.
Obusungu bulemesa omuntube era ne bumwononera okwagala, ekyonno n’ekiryoka kijjawo okunnyumirwa kw’ababiri, n’okuwomeregana kw’ekyo kyebaliko.
Obusungu era buzibikira amasannyu ate agatagiisa buli omu okulaga munne mu mukolo gwebabeerako

2. Ebboggo
Kino kireeter okujjawo ebigambo by’abafumbo ebirungi bye balibdde bogera nga beenywa, so ng’ate byetaagisa kubanga byamugaso. Era ebboggo lireeta ebimu kw’ebyo byetwalabye mu No.1 ate ng’awatali kwagala tewaba kuwoomerwa ebiseera ebisinga obungi

3. Ensonnyi
Kino kireeta omufumbo obutayagala ku mukebera mu kansiiwa ate nga abamu bafuna okwagala nga bamaze kulaba ku bwereere bwabanaabwe, bwabba kino kimuleetera okwagala okwamaanyi era n’omwami bwatyo ng’alabye ku bwereere bw’omukyala.
Omu kwabo ababeera bezina obutakkiriza ku mukebera kivirako okuffa kw’obufumbo.
Omukyala bwaba takkiriza ku mukebera mu bukudde omusajja amutamwa nnyo siinakindi okumugoba. Era bwekityo singa omusajja naye tayagala ku mukebera ku mu soddomi (embolo) omukyala kimumalamu okwagala era natamwa

4. Obukyafu
Kino kireetera abezina okubeera nga buli omu yennyinnyala munne. Singa omukyala yemukyafu kitta amaanyi g’omusajja, era ne ku mukyala bwekityo. Ebifo ebyo byombi biteekwa okubeera nga biyonjo nnyo olwonno biryoke byolese amaanyi gaabyo, biwomerwenga nammwe bannyinibyo muwomerwagane bulungi.

5. Okunnyoma.
Sikirungi kunnyomagana kubanga kino kireeta annyomye obutannyumisa kaboozi era n’oyo gwebannyomye kimumalamu amaanyi natannyumisa kaboozi wekityo nekitta ebigambo n’ebikwolwa

6. Olunkulu
Olunkulu lutta okwagala kw’oyo ab’asoose okwagala. Gamba singa omusajja y’asoose n’ayita omukyala, omukyala bwaba walunkulu alwawo okugenda eri bba, kino kiviiramu okwagala kw’omusajja okukendeera. Ate ebiseera ebimu kivaamu n’oluyoombo, era n’ekyennume kyakyo bwekityo. Olunaku mu bikolwa mulwewale nnyo kuba lutta obufumbo.

7. Okwekanasa
Omu ku babiri ayinza obutannyumirwa nga kino kiva ku kwekanasa. Oyo aba yekanasa agwamu amaanyi. Akaboozi kannyuma nnyo singa buli omu yeyanjulira munne n’okugumira ebyo byonna ebiba bibavuddemu. 
Kino kibaawo singa omukyala aba aziniddwa oluzina olumusumululu buli kituli kyonna ekimuliko ne kisumulukuka ne kifulumya ekikivamu..
Bwaba ayonsa n’amabeere gatiriika olw’embeera gyaba atuuseko. Kale bw’omwennyinnyala kimuwaliriza okuva kunkola emusumulula kuba oba omwennyinnyala

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*