Ebimu Kubiboozi Ebyogerwa Ku Kumalamu Akagoba

Abantu ab’enjawulo balina endowooza ku nsonga y’okumalamu akagoba, kyokka ng’ebiseera ebisinga endowooza eno tebeera ntuufu.

Wabula olw’okuba abantu bangi baba bakitwala nti kye kituufu, omu yeesanga nga akkirizza, era n’akiremerako. Ebimu ku byogerwa ku nsonga y’okumalamu akagoba ebitali bituufu mulimu;

Abakazi abakalu tebatuuka ku ntikko, kino si kituufu kubanga omukazi yenna asobola okumalamu akagoba kasita abeera ng’anyumiddwa akaboozi ate ng’omusajja amukutte bulungi.

Omukazi okumalamu akagoba ateekeddwa okufulumya amazzi amangi okuva mu bukyala. Ekituufu kiri nti waliwo abakyala abayiwa amazzi ag’ekika kino, naye bano be batono ddala. Abakazi bangi bwe batuuka mu mbeera eno, amazzi geeyongera mu bukyala, naye tegafuluma.

Abakazi abatono ennyo tebatuuka ku ntikko. Kino nakyo tekiriiko bukakafu kubanga omukazi ne bw’aba mutono afuna obwagazi era asobola okutuuka ku ntikko.

Abawala abagazi tebatuuka ku ntikko. Kino kikyamu kubanga okutuuka ku ntikko tekiva ku butonde oba ku bugazi oba obuwanvu, wabula kisinziira ku ngeri omuntu gy’anyumiddwaamu akaboozi n’obwagazi bwe babeera nabwo nga bali mu kikolwa ekyo.

Atalina balongo tatuuka ku ntikko. Kino nakyo si kituufu. Wadde abalongo bayambako omukazi okwongera okufuna obwagazi naddala nga munne amanyi okubanoonya naye n’abatabalina batuuka ku ntikko.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*