EBIGERE BYANGUYA ABAKAZI OKUFUNA AMASANNYALAZE

Waliwo ebintu abasajja bye basuulirira ku bakyala ne balemwa okubaggyamu omwasi. Mukazi wo akyakulemye okuggyamu omwasi? Gezaako okumutandikira ku bigere ogenda kufunawo enjawulo. Ebigere by’abakyala birina engeri gye bisumululamu ensulo z’omukwano gw’omukazi n’asumulula ttaapu ze ne ziyiwa bulungi amazzi.
 
Ebigere togwiira bigwiire, bikwate mpolampola naddala mu mpataanya z’obugere obutono. Olw’okuba wakati mu mpataanya z’ebigere bino mulimu oluliba oluweweevu, ennyonyoogeze zijja kutandikira awo n’okwambuka omubiri gwonna.
 
Ennyonyoogeze mu mubiri gw’omuntu zitandikira eno wansi ne zambuka omubiri gwe gwonna. Obusimu obwo buli lw’obukwatako butambuza mangu amasannyalaze era gasibira mu bitundu bya kyama. Jjukira nti obwagazi bw’omuntu buva mu musaayi okutambula ne gugenda mu bitundu eby’ekyama n’olwekyo buli lw’okwata mu bigere oba nga gw’osumuludde ku muguwa.
 
Oyinza okukozesa olulimi, engalo ng’obiweeweta oba okubifuuwamu omukka mu ngeri ey’omukwano. Oluusi oyinza n’okumuyambako okubinaaza singa muba mufuna akadde okunaabako mwembi.
 
Wabula ebigere bino birina kuba nga bitukula bulungi munno agende okubituukako nga tebimwesittaza oba okuvaamu akasu akayinza okumugoba ku nnyama.
 
Eyo yensonga lwaki abatembeyi ba cutex babaliddeko abakazi…Lol

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*