Ebigambo Abaagalana Bye Bakozesa Okusaba Akaboozi

OKUSABA akaboozi si kintu kyangu eri abasinga era oluusi abamu beewala okukyogera ne bakozesa bikolwa.
 
Bino wammanga by’ebimu ku bigambo abaagalana bye batera okukozesa nga basaba ekigwo ky’abakulu.
 
Mpaako: Ggwe abeera awuliriza oyinza okulowooza nti osanga munne amusaba mmere naya alyeko. Kino abasajja batera kukikola ku baganzi baabwe be batatera kwegatta nabo.
 
Kyuka: Kino kikozesebwa abasajja nga bali ne bakyala baabwe. Ebiseera ebisinga omusajja awawamuka mu kiro nga munne yeebase n’alyoka amusaba okwegatta. Wabula kino tekitera kuyisa bulungi bakyala kubanga kibeera ng’ekibalengezza.
 
Njagala kulaba ku kawale ko: Kino abasajja batera nnyo okukyeyambisa ku bawala be baakakwana era nga tebeegattangako nabo. Bamanyi nti omuwala okumugamba ku ky’akawale ke era abeera ayagala by’aterekamu.
 
Bw’akkiriza amanya ekiruubirirwa ky’ensinsinkano akifunye
Mpulira nnina’ apetayiti’: Bwe mubeera munyumya mboozi omusajja n’ayogera bino kibeera kyangu ggwe omukyala okumubuuza nti eyaki?
 
Wano w’addiramu nti ey’emmere eriibwa nga tegaayiddwa naye nga yeesinga obuwoomi!
 
Mperekeraako: Kino kitera kukozesebwa abasajja abakulu. Eyo gy’abeera akugamba okumuwerekera si walala wabula mu buliri.
 
Gira: Kikozesebwa abavubuka ng’ategeeza nti obudde butuuse mulinnye gambalagala.
 
Njagala kumira ku kalusu: Wano abeera asaba muganzi we okumunywegera era ekivaamu kaba kaboozi.
 
Jjula: Kino omusajja akikozesa ng’aludde ne munne era nga takyamukwatibwa nsonyi.
 
Gwe okasaba otya?
 

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*