Ebibuuza Amaanyi G’ekisajja

Abasajja abamu basiibirira mulondo n’emmwaanyi. Bino tebalya bya bwereere wabula banoonya maanyi ga kisajja ate abalala babiriisa kinyumu
Bangi balya bino nga tebanoonyerezza ku biki ebivaako okubulwa amaanyi g’ekisajja.

Bbivaako Omuntu Okubulwa Amaanyi G’ekisajja.

1 Okwesiba mu lubuto. Ekyenda ekinene ekikung’anirwamu emmere embi eba ey’okufuluma kye kimu ekiyamba omusajja okusinziira ng’ali mu kisenge. Buli lwe kyesiba obucaafu obwo ne butafuluma kitegeeza nti aba ajja kufuna obuzibu bw’okusinziira ng’ali mu kisaawe era ekivaamu asinziirayo ebiri ng’agwa.

2 Ebirowoozo. Buli omuntu lw’aba n’ebirowoozo ebiyitiridde kitegeeza nti obwongo aba tajja kubuzza ku ky’akola oba ky’aba agenda okukola.

3 Okweraliikirira. Bw’oyitiriza okweraliikirira okugeza amabanja, oba ebizibu ebirala kiggya omusajja mu muudu y’omukwano okukkakkana ng’amaanyi gamuwedde.

4 Okulya ennyo ennyama n’ebintu by’eng’ano. Ennyama erwawo okuvunda mu lubuto era ebbanga lyonna ly’emala nga tennavunda ekwata mu kyenda ekifulumya obucaafu olwo nga buli mmere eyagala okufuluma esanga ekkubo lizibiddwa byonna ne byetuuma mu kyenda kino. Omusajja olutuuka okusinziira, obucaafu buno buba tebumuganya ate nga buli lwe yeekaka afuna obulumi.

5 Obutalya nva ndiirwa oba ebintu ebirimu gulukosi nga kaloti. Enva endiirwa ziyamba okwoza mu lubuto n’okusumulula obucaafu bwonna obuba buwagamidde mu kyenda. Kino kikuyamba okusinziira nga olubuto lugonvu n’otuuka gy’olaga.

Okulya omulondo oba gonja n’emmwaanyi tebireeta maanyi ga kisajja wabula akakuta akabibeerako kayamba okusalaasala emmere n’obutwa bwonna obubeera mu lubuto ne mu kyenda nga bwe byesalasala ofuluma bulungi oluvannyuma olubuto ne lugonda n’ebinywa byonna ne bita n’osinziira bulungi.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*