Bannyoko tobaganya kujooga mukyala wo

Batabani bange ekimu ku bintu bye muteekwa okumanya y’engeri gye mukolaganamu ne bannyinammwe, naddala nga mumaze okuwasa.
 
Abakyala bano emirundi mingi be bavaako amaka gammwe okusasika.
 
Ensonga w’etera okuva kwe kuba nti bannyoko bagenda ne bajja awaka ne batandika okulwana okulaga mukyalawo nti wadde y’akusula mu kifuba naye be baasooka okukumanya era be basinga okuba n’ebyama byo. Kino kiri mu buzaale era abamu bambi bakikola tebakigenderedde.
 
Bwe bajja ewuwo bakitwala nti bazze kuwummula olwo ne baagala mukyala wo abakolere buli kimu nga bbo bannakyala balinze kubanga baamuwasa.
 
Oluusi ne mukyala wo ayinza okubagaana emirimu , si lwakuba nti alina amaanyi mangi naye abeera ayagala y’aba avuga ebintu awaka. Ate bwe bava awo ne batandika okukuleetera obubaka obuva eri abawala be wayagalako nga kye banoonya nti osajjalaate kubanga oli musajja.
 
Kati ggwe omulenzi bwe kakutanda n’omutuma abuzzeeyo nga bw’amukwano olwo ng’okasombye. Kubanga omuwala ono ajja kutandikanga okujooga mukyala wo kubanga alina ekyama.
 
Ate abeera akimanyi nti naawe mmwannyina tojja kumugambako kubanga omanyi nti alina bbomu gy’asirikidde.
 
Ekinaavaamu gwe kennyini kubulwa mirembe.
 
Oluusi bannyinammwe bano tebaagala kugambwako nga beetwala nti we bali kyenkana waabwe. Ate nga ne bakyala bammwe bava ewaabwe nga babakuutidde nti gye bagenze ye waabwe. Kale buli kimu aba akikwata n’okukekkereza.
 
Ate nga bano bannyinammwe baba tebaagalira ddala kukekkereza, kubanga abeera amanyi nti ssente bwe zinaggwaawo nga ye afuna omusajja amutwala.
 
Oluusi banyumiza bakyala bammwe obuwala obwo bwe mwayagalako edda ekiyinza okubanyiiza kubanga oluusi bayinza okuba nga bamanyiganye.
 
Kuno oluusi bagattako okunyumya emize ggwe mwannyinaabwe gye walina mu buto gamba ng’okunywa enjaga, okufuka ku buliri, obutanaaba, n’ebirala ebiyinza okukuweebuula mu maaso ga mukyala wo. Bino byonna biyinza okuleetera amaka gammwe okusasika.
 
Sigambye nti mubagobe awaka naye mubegendereze nnyo

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*