Amateeka Ga Kiss

 Togipapira, erina okuwangaala ate tekoma ku mimwa gyokka
 
EBINTU by’omukwano bingi abasajja bye bamanyi era bye bagezaako okukola naye bwe kituuka mu ssaayansi w’okunywegera , oba okukuba kkiisi bangi tebalondawo kabonero.
 
Abakazi kino bakisangamu obuzibu era balina okwemulugunya. Osanga omusajja ‘n’akukuba’ naye bwe kituuka mu kiisi n’akutama n’ojula okumuddukako.
 
Ekikwewuunyisa abasajja banguwa era baagala nnyo okunnuuna emimwa gya bannaabwe nga balowooza nti kasita oteeka omumwa gwo ku gw’omukazi n’omuyiira amalusu nga kiwedde! Era tebakirwako bayita mu bwangu ng’aziika muggyawe!
 
Kiisi erina okuwangaala n’okunyuma ng’akasiriikiriro k’ekiro ng’ebitonde byonna byebase.
 
Eno y’ensonga lwaki olumu mu Chicago ekya Amerika, baategeka empaka za kkiisi era abawanguzi baamala essaawa 15 nga beekiisinga. Kino kitegeeza nti okunywegera okulungi tekubeeramu kupapa wadde okulowooza ku budde. Eryo ly’etteeka erisooka!
 
Kkiisi ennungi ebeeramu okuteekateeka obulungi munno. Togenda buterevu ku mimwa wabula olulimi sooka olutambuze mu bifo ebirala.
 
Amatu ky’ekimu ku bifo ebirungi omusajja w’ayinza okutandikira kkiisi. Waggulu ku mugo gw’amatu w’asokera n’ayisaawo akasongezo k’olulimi, mpola nga yeetoolooza okukkirira ate nga bwayambuka.
 
Bw’aba akola kino wabaawo omukka oguva mu kamwa n’obugambo obuwoomerera obuyingira mu matu g’omukazi. Olwo abeera atandise okumuteeka mu layini.
 
Kino kikutuusa ku tteeka eddala ery’okubeera n’akamwa akayonjo. Okussa kuba kungi nga bw’oba owunya akamwa munno akaluubirizibwa.
 
Olulimi bwe luva kungulu ne munda mu matu lukkirira ku nsingo mu nkola ey’akasoobo nnyo mpozzi okufananako kappa esooba okulya emmese. Era wano olulimi luba lwolekedde mu kubbo okuserengeta e buziba
 
Wabula nga tonnatuukayo, kikulu nnyo okwekoonako ku mimwa gy’omukazi kuba wano waliwo Obusimu kamaala! Bwe lutuuka ku nsonda y’emimwa omukazi atandika okwesika kuba mu kitundu ekyo Obusimu bw’emimwa we butandikira.
 
Amasannyalaze omukazi g’awulira nga bamunywegera ku nsonda y’emimwa gasindika obubaka mu lugongogongo n’ebitundu eby’etoolodde eby’ekyama n’atandika okusannyalala. Era mu kiseera kino emimwa giba gikankana , nga gigonderera, gizimbye okulaga nti gyeteeseteese.
 
Omukazi bw’atuuka ku ssa lino, emimwa gyo gisimbe ku gigye nga bw’oggyayo akalimi mpolampola okatabaaze ku mimwa gye.
 
Mu kiseera kitono ajja kwasama naye aggyeyo olulimi zitandike okukoonagana. Toyiwa malusu naddala ku muntu gwe waakalaba. Abamu bazibiriza amaaso naye ekisingako kwe kutunula munno mu maaso olabe era onyumirwe amasannyalaze bwe gamuyitamu.
  omukazi anyumirwa kkiisi omulabira ku nfunyiro ezijja ebbali ku maaso k’akamwenyumwenyu akamwetimba.
 
Ekirala ensingo n’ekifuba byesikka ne bigenda waggulu era abeera akukutte ng’akunyweezezza.
 
Mu kiseera kino singa oyisa omukono n’okwatako e ‘Nakaziba’ osanga enkuba etonnye ng’ekyalo kyonna kijojobadde, era ogendayo weegendereza. Wano w’omanyira nti kkiisi yo enyumye ne munno aganyuddwa.

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*