AMABEERE G’ABAKAZI GALINGA BIBALA

EBYOGERWA ku bbeere ly’omukazi tebiggwaayo. Ne mu Kkanisa oba Klezia bwe baba bagatta abagole, balagira omwami n’akoonesa akakokola ke ku bbeere ly’omukazi, olwo omugole n’ayisaamu omukono gwe ne guleebeetera mu maaso. Olwo ng’okugatta kuwedde.
 
Naye nga lwaki ku bbeere kwe balagira omusajja okukoona? Bw’akwata obukwasi mukazi we mu ngalo okugatta tekubaawo? Nze naawe!
 
 
Enneeyisa y’abakazi mu buliri ne mu mbeera zaabwe eza bulijjo esinziira ku nkula y’amabeere gaabwe.
 
ebbeere ly’omukazi gye likoma okugejja n’amazzi g’ekyama gye gakoma era ow’ebbeere eddene bw’asanga omusajja amanyi okutakula obulungi ensulo z’omukwano, obuliri bwonna muyinza okubutobya nga ku buli safaali amasuuka mulina okugakyusa. Ye amabeere yagatadde mu biti bisatu ng’agageraageranya ku bibala:
 
Wootameroni: Gano ge mabeere amanene nga meetooloovu nga bw’olaba ekibala kino. Omukugu agamba nti ab’amabeere bwe gati batera okuba n’amazzi amangi. Babeera bamanyi omukwano naye tebatera kwagala nnyo kwegatta. Mu bulamu obwa bulijjo babeera bagezi.
 
Emicungwa: Gano tegatera kugejja era ku kifuba ky’omukazi kuba nga kwe batuuzizza emicungwa ebiri. Abakazi abalina amabeere bwe gati babeera beematira era baagala nnyo okunyumya akaboozi k’ekikulu. Kyokka omukugu ono agamba nti lwa kwagala kwegatta naye tebatera kuba na mazzi gawera.
 
Ovakedo/ Apo: Gano gabeera mawanvu ng’ebibala ebyo byombi. Ab’ekika kino baagala nnyo okwagalibwa era amabeere gaabwe gagonda ate malebevu. Baagala nnyo okwagalibwa ate batera okuba abenzi.
 
Wabula nga bwe bagamba nti tekiwoomera matama abiri, buli musajja alina ebbeere erimusanyusa ate n’amazzi g’omukazi okujja ebiseere ebisinga kiva ku ngeri omusajja gy’amukuttemu nga bali mu kaboozi. 

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*