Akayimba Kabasajja mu Kisenge

ABASAJJA bangi bwe babeera mu kaboozi basirika busirisi nga bannaabwe babatontomera ebigambo ebinyuvu. Bannaffe mufune ku nsonyi. Munno tayinza kukugabira byalo n’akuwa n’enju ya ‘laandiroodi’ nga ggwe osirise nga kasiru.

Kino kimalamu amaanyi munno n’alowooza nti tomwagala? Katonda bw’akuvaamu n’agwa ku musajja agaba ebyalo, toddayo kumulaba.

Kale nammwe mugabe ku byalo. Munno bw’akuwa Namasuba, ggwe muwe Kawempe Mbogo, akuwe Nyendo, omuddize mukono, emboozi enyume. Wammanga by’ebimu ku bisoko by’oyinza okwongera mu luyimba:

Omusekuzo gwange nguwulira gutuuse ebuziba.

Akabugumu ka nabunnya kanzita, kyokka nabunnya ono abuguma okukamala.

Oba nkutta kankutte, kasita nkussa buwoomi nze Kojja Kansiiwa Reloaded wemba nzina nzina kukumazisa

Awo we nkoona waliwo ki? Kiki ky’owulira mukwano?

Nsunda mpola munnange, siyiwa amalusu amangu.

Saba ky’oyagala mukwano.

Gano ge ndeeta ga mwana muwala. Ate njagala akufaanana.

Tondekangawo mukwano.

Omukadde omukazi yeebale kukunzaalira.

Baakulunga okukira sukaali.

Sukaali ono tomugabira balala.

Onneerabizza abakazi bonna. Awo miima, ate awo tujjisa.

Tondoopa nno ewa mmami.

N’ebirala ng’ebyo.

1 Trackback / Pingback

  1. Ezina Y’ebisobooza – The Bed Room Teacher

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*