Ag´emugga Ky´ekisumuluzo Ky´akachabali

EKIRUNGO ekisinga okwetaagibwa mu kigwo ky´abakulu ge mazzi ku ludda lw´omukyala. Omusajja bw´akwata ku mukazi alina ag´emugga agayiika nga Kiyira, amufiirako. Abakyala bwe bamaze okuvumbula nti amazzi gali ku katale, bakola ebintu bingi okulaba nga bawezaawo agayinza okunyumisa emikolo.
 
Ng´oggyeeko okwanguya n´okunyumisa emikolo, amazzi galeeta obwagazi ne gawoomesa buli ky´okola. Era ke kabonero akalaga nti munno anyumiddwa emikolo.
 
Bannaffe Abanyankole bwe baakizuula nti amazzi ga muwendo, kwe kunoonyaayo akakodyo akagafukumula okuva mu bwengula okubula okukaliza ensulo. Olwokuba kaava Mbarara, Abaganda baakatuuma ak´e Mbarara.
 
Akakodyo kano, omusajja tekamuganya kuyingira munda. Azannyira awo ku baazaalibwa ababiri, ntegeeza abalongo ne nkulabira omwana w´Omunyankole bw´afukumuka amazzi.
 
Akakodyo ako amawanga amalala bwe galabye nga gakasubwa, kwe kugezaako okukakoppa naye gakasanzeemu obuzibu. Ng´ekisingira ddala ky´eky´abakazi abalina amazzi amatono. Ate nga okukakozesa obulungi munno n´akamatira, amazzi galina okubaawo mu bungi. Kale munno bw´aba tagalina tomukuluusanya.
 
Awo olwaleero we nvudde okukuleetera akakodyo akapya k´oyinza okuyita ak´e Mbarala k´Abaganda. kano bw´onookayiga, munno ajja kufukumuka amazzi naawe weewuunye ekyali kizibikidde ensulo ze.
 
Kakolebwa katya?
 
Bwe mutuuka mu kisaawe, musooke mwerige nga bulijjo okumala akaseera. Omusajja bw´owulira ng´oyagala kutuuka ku ntikko, gamba munno aggyeyo ssemusajja mpolampola. Omukyala bw´oggyayo munno, sigala ng´okutte omusekuzo otandike okuguyisa ku balongo bo mpolampola. N´omusajja oyinza okwekwatira n´oyisa ku balongo ba munno.
 
Empewo bw´emala okukufuuwako katono, amazzi agabade gajja gasibamu kyokka obusajja ne busigala nga bukyereeze bulungi. Pima akaseera oddeyo munda okakkalabye emirimu. Era bw´owulira ng´ogenda kumala ng´oggyayo ng´oyisa ku balongo.
 
Nkukakasa nti mu ddakiika mbale bubazi omukazi agenda kusumulula amazzi g´otolabangako. Ng´oggyeeko okuleeta ag´emugga, obuwoomi obuli mu kaseera ako tebutendwa!
 
Mmwe abakyala abaayitako ewa ssenga Nabikande, lwe mujja okumanya omugaso gw´abaana abo bulijjo be muwaniridde era akakodyo kano kajja kubanyumira okukamala. Ye bw´osanga alina abalongo abawanvu okukira emiguwa egisiba embuzi, ajja kukutobya gakulukute ne mu kitanda wansi.
 
N´olwekyo mukazi wo bw´aba mukalu nga jjinja, tomusuula bbali, jjukira buli mukazi abeera n´amazzi naye mmwe mulema okugakima emugga.

3 Comments

  1. Hey Kojja kansiiwa,
    I’m looking for a medicine to increase on size of my penis.(Ebolo)
    I will be very grateful if you replied me

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*